Pookino Kwewayo ajaguzizza amazaalibwa ge 92 n’emyaka 68 egy’obufumbo obutukuvu.
Eyaliko omwaami wa Kabaka eyakulemberako e Ssaza Buddu kati Pookino omuwummuze Charles Kiyimba Kwewayo eyekazaako Okukola Tekutta, ku lwokutaano lwa sabiiti ewedde yebazizza mukama olw’okumuwa obulamu naweza emyaaka 92 wamu n’emyaka 68 egy’obufumbo obutukuvu n’emukyala we Benadetta Nakanwagi Kiyimba.
Okwebaza Mukama kuno kwakulembeddwaamu misa ey’ekitiibwa eyayimbiddwa Omusumba w’essaza ly’eklezia Katolika elye Masaka Bishop Severus Jjumba ku kyaalo Kannabukuliro mu muluka gwe Bisanje mu Kibuga Masaka.
Mu bubaka bwe, Pookino Kiyimba Kwewayo yebazizza Mukama olw’okumukuuma emyaaka gino gyonna n’emirimu gyamukozesezza, kyokka nagamba nti kati buli kyakola akikola ayanguyiriza kubanga akimanyi nti essaawa yonna agenda eri Omukama Katonda we.
Mw. Charles Kiyimba Kwewayo ye mutandisi wa kampuni ya Kwewayo (U) Ltd ne Kwewayo Uganda Vet Pharmacy era ono yebazizza Katonda olw’okumusobozesa okukola emirimu gino gyonna. Yakubirizza abantu obutaggwaamu maanyi nga batandika emirimu ng’abazungu n’abayindi bwebakola okusobola okukulakulana.
Kwewayo (U) Vet Pharmacy erina amaduuka e Kampala ku Container Village, e Mbarara ku high street nemu kibuga Masaka egatunda eddagala ly’ebisolo okuva mu mawanga agenjawulo.
Charles Kiyimba Kwewayo yazalibwa nga 3/1/1931 mu Ssaza Buddu. Yatwalibwa mu masomero agenjawulo okugaziya ku bwongo ekimuyambye mu bulamu bwe okukola emirimu.
Ssabasajja Kabaka yasiima namuwa obwa Pookino nga 1/7/2009 namukulembererako e Ssaza lye ery’e Buddu okutuusa bweyasiima nawummula. Musajja mulimi omututumufu eyo e Buddu era azze awangula engule ezenjawulo ezimusiima olw’emirimu emirungi gyakoledde eggwanga lye Uganda n’obwa Kabaka bwa Buganda.

Mu 2022, Mw. Kiyimba Kwewayo yawaayo ekibira ekitudde ku yiika 40 eri abakulembeze be kibuga Masaka okukikozesa okutumbula eby’obulambuzi kubanga kirimu ebika by’emiti ebisoba mu makumi 40, eddagala elyenjawulo, emigga, ebinyonyi n’ensolo ezitali zimu. Ekibira kino nakyo kisangibwa Kannabukuliro- Bisanje mu Kimaanya-Kabonera e Masaka.
Bya Musasi waffe.