MENGO: Abakulembeze b’Obwakabaka bakungaanidde ku Butikkiro mu Lusirika, okwetunulamu ku nteekateeka ezitambulizibwako emirimu mu Bwakabaka.
Olusirika luno olugenda okukomekkerezebwa ku lwokubiri nga 14 Mugulansigo 2023 luli ku mulamwa ogw’Enteekateeka Nnamutaayiika 2023 – 2028.
Bwabadde aggulawo Olusirika lw’abakulembeze ba Buganda omuli ba minister, abaami b’amasaza ne bassenkulu b’ebitongole bya Buganda, omunaava Nnamutaayiika w’emyaka etaano egiddako, Katikkiro Charles Peter Mayiga ajjukiza abakulembeze okunyiikira okukola emirimu gyabwe nga bagoberera enkola “Ey’omulembe Omuggya” lwebanaatuusa obuweereza obusaanidde ku bantu ba Kabaka n’okukyusa embeera z’abantu.
Katikkiro era asabye buli omu okubaako ettoffaali erizza Buganda ku ntikko ly’assaako, nga bassa essira ku kukyusa embeera z’abantu.
“Enkola Ey’omulembe omuggya yeesigamizibwa ku mpagi okuli; Obuyiiya, Obwerufu N’obunyiikivu n’ekiruubirirwa eky’okuzza Buganda ku Ntikko. Omuyiiya taba na byekwaso, Omuntu atamanyi mirimu lubeerera abaako gweyeekwasa okumulemesa”. Katikkiro bwagambye.
Omumyuka Asooka owa Katikkiro, era Minisita Avunaanyizibwa ku Nzirukanya y’Emirimu, Obuyiiya ne Tekinologiya, annyonnyodde Olusirika ebituukiddwako mu Nnamutaayiika ogwaggwako owa 2018-2023, ebikoze obutundutundu 98 ku kikumi.
Omumyuka Owookubiri owa Katikkiro, era Omuwanika wa Buganda, avunaanyizibwa ku kuteekerateekera Obwakabaka, Oweek Robert Waggwa Nsibirwa, naye ayanjulidde Olusirika enteekateeka z’Obwakabaka ezenjawulo.
Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda, Oweek Patrick Luwaga Mugumbule, y’akubirizza ekitundu ky’Olusirika ekisoose ate Ekitundu ekyokubiri kikubiriziddwa Ppookino, Oweek. Jude Muleke.
Mu bukulembeze bwa Katikkiro Charles Peter Mayiga, yagunjaawo enkola ey’okuteekateeka emirimu mu kyeyatuuma “Nnamutaayiika” nga mwemubeera ennambika egobererwa mu nkola y’emirimu mu Buganda buli luvannyuma lwa myaka etaano
Kaakano Obwakabaka bwakatambula ne Nnamutaayiika wa mirundi ebiri, ng’eyasookera ddala yatandika mu 2014-2018.
Eyaddako era agenda okugwako yatandika mu 2018 – 2023, era ng’ebimu ku Ebimu ku bituukiddwako mu Nnamutaayiika agenda okuggwako nga 30 June 2023.
Bya CBSfm ne n’omutimbagano gw’obwa Kabaka.
centralupdates31@gmail.com