MENGO: Obwa Kabaka Bwa Buganda buzizza buggya omukago ne Airtel Uganda, okutumbula obuwangwa, ennono n’embeera z’abantu mu Buganda
Mu mukago guno ogw’emyaka ebiri, Airtel yaakwongera okuvujjirira enteekateeka z’Obwakabaka eziwerako omuli: emisinde gy’Amazaalibwa ga Kabaka, omupiira gw’Amasaza, enteekateeka z’Amatikkira ga Beene, okusiibulula Abayisiraamu mu kisiibo, n’enteekateeka endala, ate n’okuwanirira omukutu gw’Obwakabaka ogwa K2.
Kulw’Obwa Kabaka bwa Buganda endagaano eno etereddwako omukono Ssenkulu wa Majestic Brands Omuk. Remie Kisaakye ate kulwa Aitel Uganda akulira bakitunzi Ali Balunywa yataddeko omukono ku ndagaano eno egenda okumala emyaaka emirala esatu (3).
Bwabadde awa obubaka bwe oluvanyuma lw’okuzza omukago guno obujja wali ku Mbuga y’obwa Kabaka mu Bulange e Mengo, Katikkiro wa Buganda Owek. Charles Peter Mayiga asiimye aba Airtel Uganda olw’okukwasizaako Obwakabaka okutumbula ebyobulamu, eby’emizaanyo, ebitone, n’okunyweza obumu bw’abantu ba Buganda. Mu ngeri yeemu, abasabye balowooze ne ku kuwagira emipiira gy’ebika n’ekigwo ekiganda, bongere okubukala mu mitima gy’abantu.
Ku lwa Airtel, Mw. Ali Balunywa, yeebazizza Obwakabaka olw’enkolagana enneesimbu, ne yeeyama ku lwa kkampuni, okutwala enkolagana eno mu maaso.
Omumyuka Owookubiri owa Katikkiro, era Omuwanika, Oweek. Robert Waggwa Nsibirwa, Ssentebe wa Majestic Brands, Omuk. Robert Nsereko, ne Ssenkulu wa Majestic Brands Omuk. Remie Kisaakye, nabo babaddewo.
Obwa Kabaka bwa Buganda bumaze ebbanga lya myaaka 9 nga buli mu mukago ne Airtel Uganda okutumbula ebyobulamu, ebitone, ebyemizanyo n’okunyweeza Namulondo okuviira ddala mu mwaka 2015.
centralupdates31@gmail.com