BUGANDA: Ssabasajja Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi II asiimye okulabikako eri Obuganda mu kusimbula emisinde gy’amazaalibwage eg’emyaaka 68 mu Lubiri e Mengo
Okusinziira ku kiwandiiko ekitongole okuva mu yafeesi ya Katikkiro wa Buganda Owek. Charles peter Mayiga, Ssabasajja wakulabikako eri Obuganda ku Sande nga “16 April 2023” ku ssaawa 12 ez’okumakya bwanaaba awuubira abaddusi.
Okusinziira ku kiwandiiko ekitongole, ku lunaku lwelumu abaami ba Kabaka wonna mu Masaza lwebanaawubira abaddusi abataasobole kugenda mu Lubiri e Mengo
Minisita wa Ssabasajja avunanyizibwa ku nsonga za Kabineeti, Olukiiko, Amawulire, Abagenyi era Omwogezi w’ObwaKabaka Owek. Noah Kiyimba asabye abantu mwenna abatannafuna mijoozi gyakuddukiramu okugifuna bunnambiro kubanga obudde buweddeyo.
Kati okumala ebbanga lya myaaka 10, Ssabasajja Kabaka yasiima okusimbula emisinde gy’amazaalibwage nekigendererwa ekyokubunyisa kawefube wokulwanyisa obulwadde bwa mukenenya mubantu.
Emisinde gya Kabaka givujjirirwa kampuni ya Airtel Uganda saako nebannamikago, wamu nebitongole byobwa Kabaka nga Radio CBS, BBS Telefayina nebirala
OKUSABA OKW’OKWEBAZA OLWA SSAABASAJJA KABAKA OKUWEZA EMYAKA 68
Mungeri yeemu, Katikkiro wa Buganda, Oweek. Charles Peter Mayiga, asabye amasinzizo ag’enzikiriza ez’enjawulo, okubaako n’okusaba okw’enjawulo okw’okwebaza Katonda olwa Ssaabasajja Kabaka, okuweza emyaka 68.
“Ssaabasajja Kabaka, Ronald Muwenda Mutebi II, agenda kuweza emyaka 68 omwezi guno nga 13. Twebaza Katonda olw’obulamu bw’awadde Kabaka waffe. Mu kkowe eryo, Tusaba amasinzizo ag’enjawulo okutegeka okusabira Baffe” Katikkiro bwategezezza.
Ku nteekateeka eno, kuliko Olwookutano nga 7, Abayisiraamu okubaako ne dduwa ey’enjawulo gye basomera Ssaabasajja; Abaseveniside ku Lwoomukaaga nga 8, ate AbaKristo, ku Ppaasika nga 9, April, 2023.
Awangaale Ssabasajja Kabaka
Centralupdates31@gmail.com