LUBAGA: Katikkiro wa Buganda Owek. Charles Peter Mayiga asabye gavumenti eyawakati okuwa Federo ebitundu bya Uganda ebitali bimu bisobole okwekolera ku nsonga zaabyo ezomunda.
Katikkiro Mayiga asinzidde mu Lutikko wa St. Mary’s Cathedral e Lubaga mu Kusaba e Misa ya Paasika nagamba nti singa ensonga eziruma eggwanga lino zoogerwa mu mazima n’okuteesa, ebitundu nga Karamoja n’obwa Kabaka bwa Buganda bijja kusobola okwekolera ku nsonga zaabyo.
Katikkiro avumiridde obulyaake obw’ekkobaane obuli mu ggwanga naddala obwa bakungu ba gavumenti okunyaga amabaati gabawejjere, neyebuuza ani yateseza ekitundu kye Karamoja nasalawo okukigulira amabaati ng’ate ekitundu ekyo Kyetaaga Mazzi.
“Karamoja yetaaga Mazzi ssi mabaati era singa ddala baali betaaga amabaati sirowooza nti gebandifunye gandifunye amagulu negatambula okutuuka mu maka g’abantu nebagekanga nga bukedde. Okugabana obuyinza mu nkola eya Federo ye nsonga ssemasonga ya Buganda eyokubiri, era Federo tekitegeeza bwa Kabaka kubanga ne mu America abagirina tebalina bwa Kabaka. Kitegeeza n’ebitundu ebitalina bwa Kabaka nga Karamoja bisobola okwekolera ku nsonga zaabyo ezomunda.” Katikkiro Mayiga bwagambye.
Owek. Charles Peter Mayiga agaseeko nti ensonga ezogerwaako ezomunda mwemuli eby’enjigiriza, eby’obulamu, okukuuma obuwangwa n’obuntonde bwensi, okulwanyisa obwaavu n’okutondawo emirimu, olwo gavumenti eyawakati nekola ku binene omuli eby’okwelinda, enguudo n’ebirala.
“Mu nkola eya Federo abakungu ba gavumenti tebetaaga kutambula buli kanyomero ka ggwanga okuva e Karamoja nebagenda e Buddu, Kyenjonjo newalala, ebitundu ebyo byandibadde byekolera ku nsonga zaabyo ezomunda olwo gavumenti eya wakati n’ekola ku by’enfuna ebyawamu, okufulumya ssente, enkolagana n’amawanga amalala, nebirala. Enkola ey’okugabana obuyinza yejja okutuvunusa ebizibu Uganda byerimu kubanga buli kitundu kimanyi ebizibu byaakyo, olwo Buganda lwejja okudda ku ntikko ne Uganda eddemu okulabibwa ng’eddulu lya Africa.” Katikkiro agaseeko
Kulwa Gavumenti eya wakati Minista omubeezi avunanyizibwa ku by’enjigiriza ebya waggulu Hon. John Chrysostom Muyingo naye asinzidde mu lutikko e Lubaga nagamba nti gavumenti eyawati efubye okulwanyisa enguzi naye olutalo lw’okugituula ku nfeete lwetaaga buli munna Uganda okulwenyigiramu.
Misa ya Paasika mu Lutikko e Lubaga eyimbiddwa Ssabasumba we Ssaza ekkulu elye Kampala His Grace Paul Ssemogerere naye avumiridde enyo obubbi nobulyaake obuli mu ggwanga naddala obwa mabaati nasaba buli alina akakwaate ku nsonga z’okubulankanya amabati ge Karamoja avunaanibwe.
Kumpi okwetoloola eggwanga, bannaddini mu masinzizo gonna gamba nga mu Lutikko e Namirembe, ku All Saints e Nakasero, ku lutikko e Kitovu Masaka ne walala bannaddiini okuli omulabirizi we Namirembe Wilberforce Kityo Luwalira, Ssabalabirizi Dr. Samuel Stephen Kazimba Mugalu, Bishop Severus Jjumba, Bishop Katumba Tamale owa West Buganda Diocese bonna okuyigiriza ku Paasika bakwetolorezza ku bulyaake obujjudde mu ggwanga ne basaba buli eyatwaala amabaati ge Karamoja okugazza gaweebwe abawejjere.
Okusaba kwa Paasika naddala mu bitundu bya masekkati ge ggwanga kubaddemu n’okusabira Ssabasajja Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda II Mukama ayongere okumuwangaaza, nga ku lwokuna nga 13th April 2023 lwagenda okujaguza emyaaka 68. Abantu ba Katonda bangi ddala beyiye mu masinzizo okwetaba mu kusaba kwa mazuukira ga Yesu Kristo.
centralupdates31@gmail.com