BannaMasaka abaasomerako mu ssomero lya Uganda Martyrs Primary School Narozaali Masaka abegattira mu kibiina ekya Bannamasaka Ssanyu Lya Bujjajja bakwekolamu omulimu okuddabiriza Kalina y’essomero lino ey’ebyafaayo era emu kweezo ezasooka mu ggwanga lino.
Akuliddemu enteekateeka zino Mw. Ricardo Mulinda awangalira e Bungereza (United Kingdom) agambye nti Ku mukolo gwegumu bano bakujagulizaako Obulamu bw’ Omutteerabirwa Munnamasaka Francis Ssemakula Mulumba, Okukyalira Olubiri lwa Nnamasole Wa Buganda Omunnamasaka – Evarini Kulabako Maasombira, Okuggulawo Ebbendobendo ly’ Ekibiina kyaabwe ery’ ekitundu ky’ e Kampala, eriyitibwa Nnamasole
Maasombira-Pere Graasi, wakati mu kawefube ow’okutumbula Ekibiina ayitibwa Bannamasaka Kuddaabiriza Kalina Y’ E Narozari, n’ Okukuza Empagi Z’ Oluganda Olubagatta.
Omukolo guno gwa kubaawo ku Lwokusatu nga 29 Novemba 2023, okuva ku ssaawa 4 ez’ enkya okukoma 10 ez’ olweggulo, mu Lubiri lwa Nnamasole Maasombira Ne Bannamasaka, olw’e Kanyanya mu Kyaddondo.
Omwaaniriza Omukulu Ow’ Omukolo aliba Nnamasole wa Ssekabaka Daudi Chwa – Madeline Ndibalekera.
Omulimu gw’okuddabiriza essomero lino elya Uganda Martyrs Primary school Naroozaali gwegumu kweejo egikulembeddemu okujaguza emyaaka 125 egy’ekigo kye Narozaali ekimu ku bifo eby’enkizo mu Eklezia Katolika egirijaguzibwa mu mwaaka 2025
Rev. John Vianey Tamale, Bwanamukulu we Kigo kye Narozaali- Masaka ekya “Our Lady of Rozary” agambye nti essomero lino ly’elimu kwaago agasooka okuzimbibwa abaminsani era wano webazimba kalina eyasokera ddala mu Uganda gyebagala okuddamu okuddabiriza okukuuma ebyafaayo by’essomero ate ne Eklezia
“Essomero lino elya Uganda Martyrs Primary school lyelyasooka okutendeka abayizi mu bitundu bye Masaka kubanga olugendo lwabeeranga luwanvu okugenda e Villa Maria abaminsani gyebasooka okukuba embuga. Kalina eno yabyafaayo kubanga yasomerangamu bayizi abekibiina ekyukaaga (P.6) n’ekyomusanvu (P.7) era abaana bafangayo nyo okunyiikira okusoma basobole okusomerako mu Kalina eno eyazimbibwa nga bakozesa ebbaawo engumu enyo kwetudde n’olwaleero era yensonga lwaki bakyagikuumye.” Fr. Tamale bwagambye
Fr. John Vianey Tamale agaseeko nti olwokunyikira kw’ebyenjigiriza ebyasooka mu kifo kino mu myaaka gya 1900 kye kyaviirako Narozaali Parish n’okutuusa kati nga yeemu ku Parish ezisinga okuvaamu abasasereddooti ne bannaddiini abangi mu ssaza ly’eklezia katolika elye Masaka.
Uganda Martyrs Primary school Narozali etendese abantu bangi abomugaso mu ggwanga lino omuli Pookino aliko Jude Muleke, Msgr. Joseph Kasule, Hon. Evans Kanyike ( MP Bukoto East) Rev. Fr. Namukangula n’abalala bangi abali wano n’emitala wa Mayanja abali mu kuyambako okuddabiriza essomero lino liddemu okuyitimuka
“Obwa Kabaka bwa Buganda, abakulembeze be Kitundu, Masaka Diocese abaana abali ebweeru n’abaKritu bonna batukwatiddeko mu kuzimba Narozali ow\’ebyafaayo era tetulema kujjukira Omugenzi Lwanga Lwanga eyatutekangamu kumpi obukadde 10 buli mwaka mu kuzimba ekifo kino,” Fr. Tamale agaseeko
Abayizi abasomerako mu Uganda Martyrs Primary School wakati mu kunyweeza ebyafaayo by’essomero lino nga bali wamu n’ekitongole kya Masaka Diocesan Education Secretariat ne Parish basazeewo okutandika ku mulimu gw’okuzimba essomero lino era okwekunga okugenda mu maaso mu banna Masaka abasomerako wano kugendereddwaamu okusonda ensimbi z’okuzimba okwatongozebwa gyebuvuddeko.
Wetwogerera nga Kalina y’essomero lino elya Uganda Martyrs Primary School Narozali eyogerwaako eri mu mbeera mbi ddala, ng’ebimu ku bisenge byayiika wansi era kati ekuumibwa ol’wokulekawo omukululo gwe byafaayo naye nga kati tewali mulimu gwonna gukolebwaamu era erindiridde kuddabirizibwa
Ebimu ku bisomooza Narozaali okutwaliza awamu kwekuba nti essomero teririna Main Hall, ekitundu tekirina Masanyalaze nga kino ky’ekimu ku bizingamizza eby’enjigiriza n’okuzza essomero emabega
Rev. Fr. Joseph Namukangula, omusomesa mu Seminaiyo e Bukalasa era omukugu mu kuyiiya enyimba ezitenderza omutonzi n’okukuba ebivuga omu ku basomerako mu ssomero lino agambye nti ebyafaayo bingi ku ssomero lya Uganda Martyrs Primary school Narozali byebasaanye okukuuma ng’omulimu gwebatandikako ogw’okusonda ensimbi okuddabiriza essomero lino kyekimu ku birabo byebasobola okuddiza Omukama okuzimba ebisulo, okuddabiriza Kalina eyasooka mu Uganda, n’ebizimbe ebirala ebyetagisa okuyitimusa essomero lino.
Ekifo kino ekye Narozaali (Our Lady of Rozary) ewasagibwa essomero lya Uganda Martyrs Primary School kyakubibwa abaminsani mu 1896 era okuzimba Eklezia mukifo kwatandikirawo okutuusa mu 1990 bwekyatongozebwa nga Parish enzijuvu nekyongera okunyikiza ekigambo kya Katonda mu bakkiriza n’okutuusa leero.
Bya Maurice Peter Matovu ne Nsubuga Robert
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at centralupdates31@gmail.com or stmaurice35@gmail.com or call and WhatsApp us on 0758 931705