BUGANDA: Ssaabasajja Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi II akubirizza abantube okunyweza obumu basobole okuwangula
Bino bibadde mu bubaka bwe ku mukolo okujaguliziddwa amazaalibwa ge ag’emyaka 68 mu Lubiri, e Mengo, n’akiggumiza nti okunyweza obumu gwe musingi ogunaatutuusa ku buwanguzi.
Ssabasajja Yeebazizza abakulembeze b’Obwakabaka olw’okulambika obulungi abantube, ne basobola okuwuliriza n’okussa mu nkola ebyo ebyettanirwa Obwakabaka, n’okunywerera ku mulamwa.
Beene eyabadde omusanyufu yakubirizza abantube okwekuuma nga balamu, bajjumbire okwekebeza n’okwewala emize egitattana obulamu bwabwe omuli okufuweeta sigala n’emmindi, neyebaza Omutonzi olw’obulamu bw’amuwadde n’okumusobozesa okubaako by’akoze, awamu ne bannaddiini bonna abamusabidde n’okumuweereza obubaka.
Katikkiro wa Buganda Owek. Charles Peter Mayiga asabye abantu okwekkaanya ennyo ensonga z’ebyobulamu bwabwe n’akiggumiza nti Beene ayagala abantube nga balamu, ky’ava asoosoowaza ebyobulamu buli lw’aweza omwaka.
Asabye abantu okunyweza obuyonjo mu maka gwabwe; okwekebejjesa emibiri, beegendereze byebalya, n’okukola dduyiro, kibayambe okuba abalamu, n’okubaako enkulaakulana gye beetuusaako.
Kamalabyonna yannyonnyodde nti okujaguza amazaalibwa ga Kabaka kulimu okutunuulira ebikulu ebikoleddwa ku mulembe gwe. Omulembe Omutebi gwazaawo Obwakabaka; gutumbudde abavubuka, n’okututumula tekinologiya, nabasaba abantu ba Kabaka okweyambisa Obuwangwa, ennono ne tekinologiya okwekulaakulanya.
Essaala Eyokusabira Ssabasajja ku mazaalibwage age 68 yakulembeddwa Ssaabalabirizi w’aba Seveniside, Dr. Moses Ndimukiika Maka, nga okusaba yakwesigamizza ku Zaburi 121: 1-8, gyeyayise ey’abatambuze, nasabira Kabaka, Omukama amwongere obulamu, amukuume, amuwonye endwadde zonna amwongere n’omukisa.
Omukolo bweguti bwegwatambudde mu bifananyi;
centralupdates31@gmail.com