BUGANDA: Olubiri lwe Memgo luwuumye enkya ya leero, Ssabasajja Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi II bwasiimye nasimbula emisinde gy’amazaalibwage age 68.
Bw’abadde tannasimbula misinde, Omutanda asiimye n’ayogerako eri abaddusi, n’abakuutira okwongera amaanyi mu lutalo olw’okulwanyisa mukenenya, abantu bayige okumwekuuma, okumwejjanjabisa, n’okulabirira abamulwadde.
Ssabasajja Yeebazizza abantube olw’okuwagira emisinde gino ne gituuka kussa erivuganya n’egyo egiddukibwa mu bibuga ebinene mu nsi yonna.
Asabye abantu okusigala nga bagijjumbira, beeyongere obungi, gituuke mu kifo ekisooka mu nsi yonna, olutalo ku siriimu tuluwangule
Mukusimbula emisinde Omutanda Azze ne Maama Nnaabagereka, Abaana b’Engoma, Abalangira n’Abambejja. So nga Katikkiro, Baminisita, Ababaka b’Amawanga ag’ebweru, Ababaka ba Palamenti, Abakulembeze ab’enjawulo, Bannaddiini n’Obuganda bwonna bubaddewo mu bungi okubugiriza Omutanda.
Ye Katikkiro wa Buganda Owek. Charles Peter Mayiga yebazizza Ssabasajja Kabaka okusiima nasimbula emisinde gy’amazaalibwage.
“Tweyanzizza nnyo Ssaabasajja Kabaka, okusiima n’otusimbula ne tudduka emisinde gy’Amazaalibwago, nga tulwanyisa mukenenya. Mu ngeri yeemu, nneebaza Ssentebe w’olukiiko oluteesiteesi, Oweek. Twaha Kaawaase; Abalangira; Abambejja; Baminisita; Ababaka b’Amawanga ag’ebweru,” Katikkiro bwagambye.
Abantu ba Kabaka mu masaza gonna e 18 nebweeeru waagwo nabo betyabye mu misinde gy’amazaalibwa egisimbuddwa abaami ba Masaza n’abamagombolola.
Emisinde gy’amazaalibwa ga Kabaka giwagiddwa Airtel Uganda, UNAIDS, CBSfm, BBS Telefayina, nebitongole ebirala bingi.
Laba emisinde mu bifaananyi;
EBIFANANYI: Buganda Kingdom
centralupdates31@gmail.com