BUGANDA: Ekika ky’Endiga kisitukidde mu Ngabo y’emipiira gy’ebika bya Buganda ekyomwaka 2022 oluvanyuma lwokuwangula ekika ky’Olugave mu mupiira oguyindidde ku kisaawe kya Muteesa II Stadium e Wankulukuku mu Kyaddondo.
Endiga ekubye Olugave, ggoolo 1-0, mu gw’abaami, ne wangula engabo y’ebika omulundi gwayo ogusoose. Katikkiro wa Buganda Owek. Charles Peter Mayiga yaabakwasizza engabo ne kavu wa bukadde 9.
Mu ngeri yeemu, Engeye ekubye ekubye Emmamba Nnamakaka ggoolo 37 – 35, mu gw’okubaka ne wangula engabo y’ebika mu bakyala. Bano nabo Katikkiro abakwasizza engabo ne kavu wa bukadde 7.
Ekika ky’Effumbe kikutte kyakusatu mu mpaka z’ebika by’Abaganda ez’abaami oluvannyuma lw’okukuba e Kkobe ggoolo 4 – 1, mu mupiira ogusooseewo mu kisaawe e Wankulukuku. Bano baweereddwa kavu wa obukadde 5.
So nga Ennyonyi Ennyange ewangudde Effumbe ggoolo 46 – 43, okukwata ekyokusatu mu mpaka ez’okubaka. Omukubiriza w’Olukiiko lw’Abataka, Omutaka Augustine Kizito Mutumba, y’abakwasizza ebirabo.
Bajjajja Abataka n’Abaami b’Amasaza babaddewo mu bungi e Wankulukuku ku Mpaka z’emipiira gy’ebika bya Buganda ez’akamalirizo.
Emipiira gy’ebika bya Buganda egy’omwaka 2022 gyetabwaamu ebika 48 ebyasambira mu bibinja 8 nga buli kibinja kyalimu ebika 6.
Ekikopo kino kyatandika okusambibwa mu 1950, okugatta abaana n’abazukulu mu bika bya Buganda byonna nokutumbula eby’emizanyo.
Ebika ebizze biwangula
1950:Mbogo
1951:Ngabi Nsamba
1952:Mmamba Gabunga
1953: Tekyaliyo
1954:Tekyaliyo
1955:Kkobe
1956:Mmamba Gabunga
1957: Nyonyi Nyange
1958: Ngeye
1959: Mmamba Gabunga
1960: Ffumbe
1961: Bbalangira and Kkobe
1962: Nkima
1963: Tekyaliyo
1964: Mmamba Gabunga
1965: Mmamba Gabunga
1987: Ngabi Nsamba
1988: Lugave
1989: Mmamba Gabunga
1990: Lugave
1991: Ngeye
1992: Ngeye
1993: Nkima
1994: Mmamba Gabunga
1995: Lugave
1996: Mpindi
1997: Nnyonyi
1998: Lugave
1999: Lugave
2000: Mpologoma
2001: Ngo
2002: Mpologoma
2003: Mmamba Gabunga
2004:Lugave
2005: Ffumbe
2006: Mpindi
2007: Ngabi Nsamba
2008: Kkobe
2009: Ffumbe
2010: Nte
2011: Mmamba Gabunga
2012: Ngeye
2013: Ngabi Nsamba
2014: Mmamba Gabunga
2015: Mbogo
2016: Nte
2017: Nte
2018: Nkima
2019: Mbogo
2020: Tekyaliyo olwa Covid
2021: Tekyaliyo olwa Covid
2022: Endiga
centralupdates31@gmail.com