BUKOMANSIMBI: Government ya Uganda yakwongera district ye Bukomansimbi ensimbi ezikola enguudo, oluvanyuma lw’emyaka kati 2 miramba nga eggombolola empya zonna ezatondebwawo mu district eyo tezifuna wade enusu era enguudo nyingi ku budde buno zafuuka ganyegenya.
Omubaka wa Bukomansimbi South mu parliament Geoffrey Kayemba Ssolo yeyasaba district ye eyongezebwe ku sente zenguudo, era ekyaama ky’okubongera ensimbi akibikulide batuuze be Butayunja mu gombolola ya Kibinge, bwabade atongoza omulimo gwokulima oluguudo olugata Butayunja ku ddwaliro e Kagogo nga alulimye k ssente ezize ng’omuntu ng’oluguudo olwo lubadde telukyayitwamu, era nga abaayo babadde bakalubirizibwa okufuna obujanjabi ku ddwaliro.
Omubaka Kayemba Geoffrey Ssolo ategezeza nti yasalawo ateeke akazito ku government, lwaki etondawo amagombolola ate negamma ensimbi, nga Bukomansimbi ebadde efuna obukadde 400 nga naye kati yakufuna akawumbi kalamba omwaka g’ebyensimbi ogujja, nga okwo nabo kwebanayongereza enkola ya bulungi bwansi nga bakwata mu nsawo nzaabwe nebakola enguudo entonotono nga bwebakoze olwo.
Abakulembeze n’abatuuze nga bakulembedwamu ssentebe wa district Fred Nyenje Kayiira, ssentebe w’ekitundu ekikoledwamu oluguudo Musoke Eria nabakulembeze abalala, basiimye nnyo omubaka oyo Kayemba Ssolo okwerekereza nakwata munsawo ze nakola ebintu ebiyambira awamu abatuuze, bwebatyo nebasaba abantu okuuma enguudo obulungi nga batereeza emifulejje.
District ye Bukomansimbi ekolebwa eggombolola 5 ne town council 4 ewamu z’eggombolola 9, nga kwezo kumpi omwaka gugwako nga waliwo ewatakoledwa luguudo ku ssente za government olw’ensimbi entono ezibade zija, nga omubaka oyo Kayemba Ssolo agambye nti bwakwongera okunyikiza enkola ya Buganda eyabulungi bwansi nga bbo nga abakulembeze bagula amafuta olwo nebadabiriza enguudo.
Bya musasi waffe
centralupdates31@gmail.com