Katikkiro wa Buganda Owek. Charles Peter Mayiga azzeemu okutalaaga amasaza ga Buganda, okubunyisa kaweefube wa Mmwanyi Terimba ow’omwaaka 2023.
Kawefube ono Katikkiro amutandikidde mu Ssaza lye Busiro ng’eno asoose kuggulawo kirabo kya kaawa e Wakiso ekya Loyz Coffee, ku Nakibuule Plaza. Wano anyweddewo ne ka kaawa, oluvannyuma nayolekera ennimiro.
Mu lugendo luno Katikkiro awerekeddwako, Oweek Noah Kiyimba, Oweek Mariam Mayanja Nkalubo, Oweek Amisi Kakomo, Oweek Henry Sekabembe Kiberu, n’abakungu ba Kabaka abalala bangi ngeno ayaniriziddwa Ssebwana Charles Kiberu Kisiriiza, omwami wa Kabaka atwaala essaza Busiro n’omumyuukawe Aloysious Kyeyune.
Bwabadde aggulawo ekirabo kya Kaawa e Wakiso, Katikkiro Mayiga akubirizza abantu ba Buganda okwettanira okunywa enyo kaawa abalimi be mmwanyi bafune essente ezisobola okuwerera abaana, okuzimba amayumba nebirala olwo Buganda esobole okudda ku ntikko.
Katikkiro akubirizza abazadde okuyigiriza abaana okunywa kaawa, bakule nga bamutegeera, bamwettanira, abantu bafune emirimu egimwekuusaako, awamu n’ensimbi beeyimirizeewo.
Awakanyizza abagamba nti kaawa alwaza entunnunsi, z’agambye nti ziva ku kukabiribwa, okugayaalira dduyiro, ate n’oluusi zitambulira mu musaayi. Abantu abawadde amagezi bayige okwewummuzaamu, bakendeeze ku kukabirirwa.
Ebimu ku bifo Katikkiro byatandikiddeko okulambula ku mulundi guno kuliko abalimi abatutumufu Richard Wasswa e Kakiri ne Nelson Kalyango e Namayumba wamu neku Kigo ky’e Kiziba Catholic Parish e Masuliita.
Katikkiro azze atalaaga amasaza ga Buganda gonna okukunga abantu ba Kabaka okulima emmwaanyi okusobola okwejja mu bwaavu ngeeno nendokwa ze mmwanyi ezisoboba mu 10,000 zezakagabwa obwa Kabaka bwa Buganda mu masaza gonna e 18 okutumbula ekirime kino wansi we kitongole kya Buganda Cultural & Development Foundation (BUCADEF)
Obwa Kabaka bwa Buganda era bwatandikawo ne Kitongole ekya Mmwanyi Terimba Ltd okugula emmwanyi ku balimi ku bbeeyi essanidde wamu nokuzongerako omutindo ogwetagibwa ku katale kensi yonna, nga nokulima emmwanyi mu Buganda Kweyongedde ebitundu 35%.
centralupdates31@gmail.com