Ssabasajja Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi II asiimye nakulisa abantube okutuuka ku mazuukira ga Mukama waffe Yesu Kristo ag’omwaka guno, nasaba abantube okusigaza omutima gw’okusabira eggwanga newankubadde ekisiibo kiwedde.
Mu bubakabwe obw’amazuukira ga Yesu Kristo, Ssabasajja Kabaka era asabye abantube okusabira n’ebyo ebitusomooza omuli ebikolwa eby’obunanfuusi, emisolo emingi, obulyake, okutyoboola empisa n’ebyobuwangwa, saako nebula ly’emirimu mu bavubuka.
Obubaka bwa Ssabasajja Kabaka mubujjuvu busoma bwebuti;
Tukulisa abantu baffe mwenna okutuuka ku Mazuukira ga Mukama waffe Yesu Kristo ag’omwaka 2023. Okwebonereza n’okwegayirira kwe mubaddemu mu Kisiibo, kubaviiremu obulamu obuggya, essanyu n’emirembe. Newankubadde ekisiibo kiwedde, tubasaba omutima og’wokutusabira, okwesabira n’okusabira eggwanga lyaffe, gweyongere bulijjo.Okuzuukira kwa Yesu Kristo kutwegombesa okusonyiwa abo bonna abasanyukira amaziga n’okunyolwa kw’abantu baffe naddala abo abayaayanira eddembe, obumu n’okusosolebwa okwengeri ez’enjawulo.
Tusabira n’ebyo ebitusoomoza omuli; ebikolwa eby’obunnanfuusi, emisolo emingi, obulyake, okutyoboola empisa n’ebyobuwangwa n’ebbula ly’emirimu mu bavubuka baffe. Tuleme kuggwaamu maanyi nga tukolerera eggwanga lyaffe newankubadde, olumu wabeerawo okutendewererwa.
Tubaagaliza essanyu n’emirembe mu nnaku z’Amazuukira. Tusaba abantu baffe abagenda okujaguza Ppasika mu byalo, okukozesa ennaku zino okukubiriza n’okujjumbizisa abantu baffe okwenyigira mu mirimu egireeta ensimbi, okuba n’emmere emala mu maka n’okuweerera abaana baffe. Mujjubire nnyo okulambula ab’enganda n’okwagazisa abaana ebika byabwe.
Omukama abeere nammwe
Nasaako omukono
Ronald Muwenda Mutebi II
KABAKA.
centralupdates31@gmail.com