KALANGALA: Okweyongera Kwa mazzi mu Nyanja Nalubaale kukosezza omulimu gw’okubunyisa amazzi amayonjo mu bizinga by’e Ssese
District eye Kalangala yonna esangibwa wakati mu Nyanja Nalubaale. Erina ebizinga 84, naye ebizinga 63 byebiriko abantu abawangalira Ku myaalo 92 n’ebyaalo ebiri mu magombolola 7 agakola district Eno.
Government eyawakati yapatana kampuni eya Kalangala Infrastructure Services (KIS) negikwaasa omulimu gw’okubunyisa amazzi amayonjo ku kizinga ekisinga obunene e kiyitibwa Buggala okutudde office za government zonna n’ebitongole, era abantu mu kitundu kino tebajula kubanga balinga abali Ku lukalu.
District yo yasigaza obuvunanyizibwa bw’okubunyisa amazzi amayonjo mu bizinga ebisigadde, kubanga yadde bitudde mu Nyanja wakati, amazzi ge Nyanja tegaba mayonjo, gaba galina okusengejjebwa era district erina obuvunanyizibwa okuzimba boreholes ne water pumps mu myaalo gyonna.
Wabula, namutikkwa wenkuba eyatonya gyebuvuddeko okwetoloola eggwanga anokoddwaayo ng’ekimu ku bizibu nabuli kati ebiremesezza abantu mu bizinga by’e Ssese okufuna amazzi amayonjo.
Okusinziira ku Ssentebe wa District eye Kalangala Mw. Rajab Ssemakula, district yali etandise ku mulimu gw’okubunyisa amazzi amayonjo wansi mu bizinga ng’ezimba “solar water pumps” ezomulembe ne “boreholes” ku myaalo, wabula namutikkwa wenkuba eyatonya ku nkomerero y’omwaaka oguwedde yayongera obungi bwa mazzi mu nyanja Nalubaale negayonoona pumps zonna ezaali zitereddwaawo okuwa abantu amazzi amayonjo.
Ssentebe Ssemakula ategezezza omukutu Guno nti “water levels” mu nyanja okweyongera kwatataganya amazzi agaali gasimiddwa, pump nezitambula olwo systems zonna nezonooneka.
“Amazzi gonna gebaali bapimye gatataganyizibwa, pump nezonooneka okuviira ddala ku mwaalo gwe Kachanga, Misonzi, Kitobo, Namisoke, Lujjaabwa nawalala olwo abantu nebatandika okusena ku Nyanja,” Mw. Ssemakula bweyategezezza.
Ono agaseeko nti yadde district efuna ssente z’okubunyisa amazzi okuva mu government eyawakati, naye okuva covid bweyajja govt yasalako ku muwendo gwa ssente zeyali ebawa kumpi emirundi 4, naye kati basabye govt eyambeko okuddabiriza “water systems” ezaali zizimbiddwa mu kusooka balyooke bongere okuzimba Empya.
“Omwaka Guno tusuubira okuzaako water pumps e Misonzi, Lujjaabwa ate tukole n’empya nga bwetwakola e Kaazi. Ffe nga govt twalyagadde okutuusa amazzi amayonjo buli wamu naye olw’obufunda bwensawo yaffe tugenda kuzimba n’okuddabiriza okusinziira ku nsimbi eziba zirabiseewo,” Ssentebe Ssemakula bweyanyonyodde.
Mu ngeri yeemu Ssentebe Ssemakula era awanjagudde abantu Ssekinoomu n’ebitongole okuvaayo bayambeko district ye Kalangala okwongera okubunyisa amazzi amayonjo abantu baleme okukozesa amazzi ge Nyanja agatasengejjeddwa.
Ebiseera bye nnaku enkulu omwaka oguwedde, Omubaka wa Palamenti akiikirira Kyamuswa mu lukiiko lw’eggwanga olukulu Hon. Moses Wagaba Kabuusu yabimalako ng’atalaaga emyaalo egitali gimu e Kalangala, era yaleka ayambyeeko okuddabiriza boreholes ku myaalo okuli Lulindi Nabbumba, Buyovu, Kkusu n’ewalala, nga nekunkomerero ya ssabiiti ewedde yalesse addabirizza solar water pump ku mwaalo gwe Namisoke era abeeno yabalesse basena ku mazzi amayonjo
Omubaka Moses Kabuusu agambye nti yagasalawo okuyambako abantube bafune amazzi amayonjo kubanga agennyanja gakwata enkonge (algae) negakola langi eya Kiragala (green) eyitibwa Mubiru nga ssikyangu kugakozesa
“Naye olwokuba eby’obuyonjo mu myalo (public health) ssibyamulembe, kaabuyonjo biyigo nebirala, abantu amazzi ag’okukibalama gabeeramu kazambi (contaminated with fecal material) kubanga amayengo bwegakuba gakima n’ebikyafu ebiri Eno waggulu, sso nga ne mukoka abeera akulukusa. Kale endwadde ezisibuka ku bukyafu ziri ku mazzi g’emyalo. Amayengo lwegabeera agamaanyi okusenawo amazzi ku kibalama tekisoboka atenga gabeera gasiikuuse,” Hon. Kabuusu Moses bweyategezezza.
Hon. Moses Kabuusu era agaseeko nti waliwo amayumba agabeera wagguluko n’emyalo nga Bambi ate okuva ku mwalo okwambuka waggulu lubeera lusozi kale bwewabeerawo obusobozi obwambusa amazzi okutuuka waggulu eyo agemidumo ne bore holes obeera ojunye okulwanyisa obuzibu obwo.
District eye Kalangala erina ebisomoozebwa okuviira ddala ku by’obulamu ebyabulijjo ebiva ku ddwadde za mazzi nga Bilharzia, eby’enjigiriza, eby’entambula ebitali birungi wansi mu bizinga, nga nemu alipoota eyakafulumizibwa eya Presidential Fast track Reort eya 2022 eraga nti district eno y’esingamu akawuka ka mukenenya (HIV/AIDS) n’ebitund 16.2% okwetoloola eggwanga lyonna.
EKIFANANYI: Omubaka Kabuusu ng’ali neba Engineer nga batekayo Solar pump ku mwaalo e Namisoke.