MENGO: Omuyimbi omusiime Pallaso Mayanja n’ebitongole ebiwerako saako bannabyabufuzi bongedde ebbugumu mu misinde gy’amazaalibwa ga Kabaka bwebeyiye mu bungi ku Bulange e Mengo okugula emijoozi basobole okwetaba mu misinde gy’Amazaalibwa ga Kabaka, ku Ssande eno mu Lubiri.
Ssabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II bweyabadde ayogerako eri Obuganda ku mikolo gy’amazaalibwage mu Lubiri e Mengo ku lwokuna, yasiimye nayatula erinya lya Pallaso ng’omuyimbi omu kubamusanyusa mu nyimba zafulumya, era mukwebaza Pallaso akiikiddewo e Mbuga gyagulidde emijoozi gy’emisinde era nakunga nabawagizibe bonna okujjubira emisinde gino
Amakampuni n’ebitongole ebyenjawulo ebiguze emijoozi gyemisinde gy’amazaalibwa kuliko, Insurance Regulatory Authority, KCCA, URA, Civil Aviation Authority, Uganda Breweries Ltd, MildMay, Uganda National Oil Company, UMEME, Uganda Railways Corporation, Nkobazambogo Kyambogo, Uganda Baati, Unilever, KPMG, Baylor college of medicine, Bank of Uganda, ne Uganda Communications Commission
Abalala kuliko woofiisi ya Ssentebe wa NRM mu ggwanga, nga bakulembeddwamu Hajati Hadijah Namyalo, e Kyambogo, baguze emijoozi gy’emisinde gy’Amazaalibwa ga Kabaka, gya bukadde 30, giweebwe abaddusi okuyita ku mikutu gy’empuliziganya egy’enjawulo, saako Ababaka ba Palamenti abava mu Buganda wamu naba Uganda Medical Association.
Bano bonna gibakwasiddwa Katikkiro, n’akiggumizza nti okulwanyisa mukenenya kwa buli muntu. Kyokka alabudde abantu obutagayaalira endwadde endala, omuli n’ezo eziva ku ndya embi, omugejjo, nobuteefaako, z’akubirizza abantu okwegendereza.
Munger yeemu, Obwakabaka bwanjudde Ambyuleensi ezigenda okukozesebwa mu misinde gy’amazaalibwa ga kabaka ku Ssande eno nga 16. Ambyuleensi zino ziweereddwayo ebitongole eby’enjawulo okubadde:
Mengo Hospital, AAR Health Care, Mild May Uganda, Holy Cross Orthodox Hospital, International Hospital Kampala, Ruby Hospital; Ministry of Health, Lubaga Hospital; Henrob Hospital, Red Cross Society, St. Catherine Hospital, Mulago specialized women and Neonatal Hospital, KCCA, Nakasero Hospital ne Uganda Police.
Emisinde gyakutandika ku ssawa 12 ku sande eno era Ssabasajja Kabaka yasiimye okugisimbula mu kaweefube ow’okulwanyisa obulwadde bwa mukenenya, ngomulamwa omukulu.
centralupdates31@gmail.com.