MASAKA: Omukungu w’ekitongole ekivunanyizibwa ku mwaanyi mu ggwanga ekya Uganda Coffee Development Authority (UCDA) ategerekeseeko elya kabalega asaanyizaawo “Nursery bed” yendokwa z’emmwaanyi 12,000 ezibadde zituuse okusimba n’ezisigaddewo n’ebazifuuyira eddagala erizikaza n’enyinizo nebamutwala ku police nebamusiba.
Kabalega ngali wamu nebasajjabe nabasirikale balumbye Nursery bed ya Joseph Ssewanyana esangibwa e Kayirikiti mu Nyendo- Mukungwe Division nebasanyaawo endokwa 12,000 nga basaawa ate endala nebazifuuyira eddagala era banyini nnimiro abalala abakolera mu kifo bagambye nti ekibakoleddwako ttemu lyenyini era basabye gavumenti etulule mu bakozi baayo abekitongole kino beyasindika e Masaka
Bano batutegeezezza nti emu ku nsonga ebavunaanwa bwebutaba na certificate yamwaka guno ebakakasa, okukolera ewala nemmeresezo, obutatuukiriza bisanyizo nebirala. Wabula abamu ku batuuze bagamba nti Kabalega naye alina Nursery bed y’emmwanyi nga bwalaba ezisinga ezize omutindo ng’azisanyaawo nga yekwaasa nti yalondoola omutindo.
Bano balaajanye ne Kabaleega abawe certificate ebbanga lyonna nga abasuubiza jjo jjuuzi, kyokka bewunyizza okubefuulira nasaawa emmaali yaabwe ebalirirwamu obukadde obusoba mu 20 atenga okuva webatandika okuzisimba mwaka mulamba emabega azze abalaba.
“Gavumenti etuyambe kubanga ffe tetugenda kubba oba kwetunda, tukooye okutunyigiriza kubanga okusaawa nokufuuyira emmwaanyi zaffe kikolwa kya butemu. UCDA twagisaba certificate nezituma, twakola buli kyebetaaga ate nga nezimu ku nsigo zetwatandika nazo bebazituwa.” abatuuze abakoseddwa bwebategezezza.
Akolanga g’omwogezi wa police mu bbendobendo ly’e Masaka Twaha Kasirye ategeeza nti okusinziira ku byategeddeko ab’ekitongole kya UCDA babadde ne police eyakutte nnyini nursery bed eno, naye bakyanonyereza ku nsonga eno.
Ssentebe wa Division ya Nyendo Mukungwe Mulindwa Nakumusana avumiridde obukambwe obukoleddwa aba UCDA kubanga guno gwemulimu abantube naddala abakyala gwebasinga okujjamu ssente.
“Abantu mu Nyendo, Ssaza, Kiyimbwe, Kalagala, Kitenga, Kayirikiti, Kirumba, Nakayiba naddala abakyaala guno gwemulmu gwebasinga okujjamu ssente era abagula ku mmwanyi zino tebemulugunya kubanga zibala. Bwebaba basobezza bandibonerezeddwa mu nkola endala nebatasanyaawo nnimiro zino kubanga mwebajja akasente akawerera abaana, okulya, okufuna obunjanjabi,” Ssentebe Nakumusana bwategezezza
Nakumusana era agambye nti abantu bano aberwanako ssente bazewola mu nteekateeka za gavumenti zessaawo era asuubizza okukwatagana naba UCDA nabakulira ekibuga batuule balabe engeri entuufu gyebasobola okukangavvuramu abatagoberedde mateeka nga sikusanyawo nnimiro zaabwe zebateekamu obulindo bwensimbi.
Kabaleega agambibwa okuba nga yakulembeddemu ekibinja kyabasaaye ensimbo zemwanyi tugezezzaako okumunonyako ku ssimuye eyomungalo emanyikiddwa abeeko byatubuulira kulwekitongole kya UCDA nga tajikwata.
centralupdates31@gmail.com