BUGANDA: Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye naggulawo empaka z’emipiira gy’ebika by’Abaganda ez’omwaka 2023 mu kisaawe kya Muteesa II Memorial Stadium e Wankulukuku wakati mu nnamungi w’Omuntu.
Empaka z’omulundu guno zigguddwawo Bazzukulu ba Mugema abeddira Enkima n’Engabi Ensamba era Engabi ekubye Enkima ku ggoolo 3 – 1 mu mupiira oguguddewo empaka z’omupiira gw’ebika by’Abaganda ez’omwaka guno
Omusambi Moses Kiggundu yateebedde ekika ky’Enkima ggoolo eyise mu kusimula penati ate goolo z’Engabi Ensamba zitebeddwa musambi Kamoga Ivan ne Vianney Ssekajugo ateebye goolo 2
Wabula wasooseewo mupiira gw’okubaka oguwanguddwa Enkima bw’ekubye Engabi ku ggoolo 43 ku 30.
Ssabasajja abadde abugiriziddwa Kamalabyonna wa Buganda Owek. Charles Peter Mayiga, Omulangira Ssemakokiro, Abataka, Abaami ba Masaza, ba Minisita wamu n’abakungu abalala bangi
Empaka z’ebika bya Buganda ziwagiddwa kampuni ya Airtel, UNAIDS, CBS FM ne BBS Telefayina era zakutambulira wansi w’omulamwa gw’okulwanyisa Mukenenya.
Laba ebifananyi (Bya Buganda Kingdom Press)
centralupdates31@gmail.com